Ensangi zino bataata bangi n’abaana b’abegganda bagufudde muze okuganza n’okukabassanya abaana baabwe n’abaana b’abegganda zaabwe, ekyongedde okuleeta okweraliikirira mu ffamire nnyingi eri abakyala. Beebuza ani gwe beesigisa abaana abawala, anti bataata nabo kati babatya, abasomesa ku masomero, mu begganda bonna bafuuse ekirala, omwana omuwala talina bwekyusizo. Gye buvuddeko , taata Benard Kakinda, 39, omukinjaagi ku Ndikuttamadda e Masajja, era omutuuze w’e Lufuka Ndejje yamalakoabatuuze be Ndejje ebyewungula bwe yakkakkana ku baana be abato bana n’abatunuza mu mbuga ya sitaani, omu n’amutikka olubuto, beekubira enduulu n’akwatibwa poliisi eyamutwala mu kkooti e Makindye n’asindikibwa mu kkomera e Luzira okutuuka omwaka guno. Omulamuzi Sarah Basemera, akulira kkooti y’e Makindye ku nkomerero y’omwaka oguwedde, teyamukkiriza kubaako kyayogera, namusidika e Luzira okutuusa January 25, 2024 lwalidda okuwerennemba n’egy’okusobya ku baana be amabujje egiri ku fayiro SD; 109/06/12/2023. Kakinda okukwatibwa, mukyalaawe Shamira Nalweyiso 24, yasooka kwekubira nduulu mu b’obuyinza okumuyamba ku bba asusse okukabassaanya abaana be, ng’amukutte lubona enfunda eziwera ate bw’amugambako n’amukuba emiggo emizibu kubuka kumutta.